Deuteronomy 15:7-11

7 aBw’onoobanga oli mu bibuga by’omu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, mu mmwe bwe munaabangamu munno omwavu ali mu kwetaaga tokakanyazanga mutima gwo wadde okukodowaliranga muganda wo oyo omwavu. 8 bOmwanjululizanga engalo zo, n’omuwolanga n’okwagala kyonna ky’anaabanga yeetaaga okumuwewulako obuzibu bwe. 9 cWeekuumenga nnyo olemenga kubeeranga na ndowooza eno embi mu mutima gwo nti, “Omwaka ogw’omusanvu ogw’okusonyiwa amabanja gusembedde,” muganda wo n’omukwatirwa ettima n’otobaako ky’omuwa. Muganda wo ayinza okujulira eri Mukama n’osangibwanga ng’ogudde mu kibi. 10 dMuwenga n’okwagala n’obutajuliriranga, kubanga olw’omwoyo ng’ogwo, Mukama Katonda wo ajjanga kukuwanga omukisa mu mirimu gyo gyonna, ne mu buli kintu ky’onootuusangako engalo zo. 11 eOlwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.

Copyright information for LugEEEE